Bya Zainab Ali

Kyaddaki abakulu ku yunivasite e Makerere basambaze ebyogerwa nti abamu ku bayizi ku yunivasite baasobezeddwako mu kiseera ng’amaggye galumbye yunivasite obudde obw’ekiro.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, ebifaananyi n’obutambi byafulumizibwa ng’abayizi, balumiriza amaggye okubalumba nga bawumuddemu mu ‘Hall’ ya Lumumba ne batimpula abayizi emiggo omuli n’abaliko obulemu mu kiseera ng’abayizi bawakanya eky’okwongeza ebisale ebitundu 15 ku buli 100.

Kigambibwa mu kanyoolagano akaaliwo, abamu ku bayizi baasobezebwako, abaliko obulemu naabatali bangi banyiga biwundu, kompyuta, Ttiivi ssaako n’ebintu ebirala babyonoona.

Enkya ya leero, abakulu ku yunivasite e Makerere nga bakulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko olutwala yunivasite Ronah Magala, bakedde mu kakiiko ka Palamenti k’ebyenjigiriza okwewozaako n’okutangaza kwebyo, ebigenda mu maaso ku yunivasite.

Amyuka ssabawandiisi w’e Makerere Yusuf Kiranda, mu kakiiko asambaze ebyogerwa nti waliwo abayizi abasobezebwako.

Kiranda agamba nti tebanafuna mwana yenna, yeemulugunya nti yasobezebwako ekiraga nti ebyogerwa bikyamu ddala.

Wabula eyaliko omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti era omubaka omukyala owe Kasese, Winnie Kiiza agambye nti kya butonde omukyala yenna okuswala singa asobezebwako era y’emu ku nsonga lwaki abayizi batya okuvaayo, okulumiriza omuntu yenna.

Agamba nti okutya okuswala, waliwo n’abayizi abawaliriziddwa okwegata n’abasomesa olwa Makisi kyokka ne batya okubyogerako.