Kyaddaki omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabillis, agobye emisango gyonna egibadde givunaanibwa ssenkulu wa sisimuka Uganda Frank Gashumba.

Gashumba abadde ku misango gy’okweyita ky’atali nga kigambibwa nga 12, September  2017 y’alina ekigendererwa ky’okubba bayinvesita okuva mu ggwanga erya Holland ng’abalimbye nti ye Col. Francis Okello Direkita avunanyizibwa ku bikozesebwa mu minisitule y’oby’okwerinda.

Kigambibwa nti yasangibwa ne ndaga muntu za minisitule y’ebyokwerinda eya Uganda ne South Sudan era n’asangibwa n’ebiragalagala.

Mungeri y’emu abadde avunaanibwa okwekobaana ne muganda we Innocent Kasumba ne Ismail Kiyingi ne balimba bayinvesita okubafunira kontulakiti y’okuleetera minisitule y’ebyokwerinda emmotoka ezikozesebwa mu ntalo, ttanka z’amazzi  nga kino bakikola okugezaako okubba ssente.

Mu kkooti, omulamuzi agobye emisango gyonna nga kivudde ku ludda oluwaabi okulemwa okutwala mu kkooti obujjulizi n’abajjulizi okulumiriza  Gashumba.

Omulamuzi Amabillis agambye nti mu myaka 2 ludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi era y’emu ku nsonga lwaki emisango egigobye.

Oluvudde mu kkooti, Gashumba abadde omusanyufu, agambye nti agenda kutwala mu kkooti abantu ab’enjawulo omuli amyuka omwogezi w’ekitongole eky’amaggye Lt Col Deo Akiiki, eyatuuza olukiiko lwa bannamawulire, okulaga nti alina emisango kyokka alemeddwa okuleeta obujjulizi.

Mungeri y’emu agambye nti n’abakungu mu kitongole ky’amagye ekikessi (CMI) bangi bagenda okutwala mu kkooti olw’okusiiga erinnya lye enziro.