Omugagga Olim Charles amanyikiddwa nga Sipapa akutudde ddiiru n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.
Nga 1, November, 2019, Pulezidenti Museveni yasisinkana Sipapa mu State House Entebbe okwogera ku nsonga ez’enjawulo.
Sipapa agamba nti yategeeza Museveni ku nsonga y’ebbula ly’emirimu mu ggwanga ate nga bangi ku bannayuganda betaaga obusente obusaamusaamu okwetandikirawo emirimu.
Wabula sipapa agamba nti Museveni yamuwadde olukusa okwongera okuyamba abantu ng’abawa ensimbi okwetandikirawo emirimu kuba kigenda kuyamba nnyo okukendeza ku bbula ly’emirimu.
Bw’abuuziddwa oba alina ssente ezimala okuyamba abantu, agambye nti, “twakiriziganyizza ne Museveni nze nkozesa ssente zaange okuwa abantu entandiikwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, agenda kuzinziriza kuba mba n’ebiwandiiko ebiraga abantu ssente ze mbawadde“.