Omuyimbi Lydia Jazmine agumizza muyimbi munne Eddy Kenzo okuguma olwa Rema Namakula okumusuulawo.
Rema wadde abadde alina omwana ne Kenzo, yafunye omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya era nga 14, November, 2019, agenda kumwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Wabula Jazmine agamba nti mu bulamu, buli muntu yenna alumwa singa omuntu gw’abadde ayagala amusuulawo era ne Kenzo embeera gy’alimu mu kiseera kino agitegeera bulungi nnyo.
Jazmine agamba nti “ndi Mukwano gwa Kenzo, buli muntu alumwa kuba ne Kenzo alina Feeling, naye ate buli muntu yenna akirizibwa okulumya omulala, so Kenzo ajja kutereera, tewali mbeera ya lubeerera“.
Ku bigambibwa nti Jazmine ali mu laavu ne Kenzo, agambye nti abantu balina eddembe buli omu okwogera ekimusanyusa kuba ye akimanyi nti Kenzo mukwano gwe nnyo kuba bonna bali mu kisaawe kye kimu eky’okuyimba.