Omuyimbi Rema Namakula aleese embooko z’abawala okuweesa omukolo gwe ekitiibwa nga 14, November, 2019 bw’anaaba ayanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Ku lunnaku olwokutaano, mikwano gya Rema gy’amukoledde akabaga okumwagaliza obufumbo obulungi akamanyiddwa nga ‘Introduction Shower’.

Wakati mu ssannyu, Rema alaze nti alina mikwano gye okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ate nga bonna mbooko.

Abamu ku bawagizi ba Rema bagamba nti, omuntu waabwe okuleeta abawala bokka abanyirira ku Introduction Shower kabonero akalaga nti ku mukolo, agenda kweyambisa abawala abanyirira bokka y’okusabbalaza ‘ba love nigger, ba ssemyekozo’ n’okusindikira Kenzo sigino nti afunye omusajja omutuufu mu bulamu bwe.