Omuyimbi Eddy Kenzo ali mu ssannyu oluvanyuma lw’okufuna ekivvulu ebweru w’eggwanga nga 15, November, 2019 okusobola okwesamba bannamawulire okumubuuza ebibuuzo amangu ddala nga Rema Namakula ayanjudde bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde.

Rema agenda kwanjula Hamza ku Lwokuna nga 14, November, 2019 era Kenzo abadde asuubirwa okuba mu Uganda ku lunnaku olwo.

Mu kiseera kino kikakasiddwa nti nga 15, November, 2019, Kenzo alina ekivvulu mu kibuga Dubai ku Festival Arena, Dubai Festival City.

Abamu ku mikwano gya Kenzo abamuli ku lusegere abagaanye okwatuukiriza amannya bagambye nti Kenzo agenda kuva mu Uganda ku Lwokusatu nga 13, November, 2019 okusobola okwewala okulaba byonna ebigenda mu maaso ku mukolo gwa Rema e Nabbingo ku lwe Masaka.

Ng’omusajja omulala yenna, Kenzo alumwa olwa Rema okumusuulawo ate nga balina omwana era abadde mukwano gwe okumala ebbanga ddene.