Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo okutaasa ennyumba y’abaana ba Ghetto Kids obutatundibwa kuba kisobola okubazaayo mu mbeera embi.

Kigambibwa ennyumba yali etundibwa obukadde 210 ne basasulako obukadde 108 ne basigala nga babanjibwa obukadde 102 kyokka mu kiseera kino ssente zibabuze ate ekiseera ekyabaweebwa kyagwako dda.

Okusinzira ku mikwano gy’abaana ba Ghetto Kids, omuyimbi Omumerika French Montana yali yabawaako obukadde 108 ng’asuubiza okumalayo ssente mu bbanga ttono kyokka mu kiseera kino amassimu takyakwata wadde okwanukula obubaka ku ’email’ ate nga aba Ghetto Kids tebalina ssente mu kiseera kino okumalayo ebbanja.

Kenzo agamba nti ensonga abadde azifunira ku yintanenti ng’abantu abalala kyokka agenda kusisinkana Mr Kavuma Dauda manejja wa Ghetto Kids okusala amagezi ku nsonga eyo.

Agamba nti ensonga azikwasizza Omutonzi okubataasa okuvunuka ekizibu ky’okutaasa enju y’abaana, “Ensonga ze enyumba ya Mr kavuma Dauda and ghetto kids nabadde sizimanyi nange narabidde ku internet nga mwe bwemwalabye naye I will be having a meeting with him Tulabe what we can do. Katusabbe mungu atusasire tufune solution mangu. Era njakuba mbabulira wetutuse InshAllah“.