Poliisi y’e Gulu ekutte ssemaka ku by’okusobya ku mwana omuto, atemera mu gy’obukulu 11.

Jamal Tabban myaka 34 nga mutuuze ku kyalo Patuda mu ggombolola y’e Layibi mu Monisipaali y’e Gulu yakwattiddwa ku by’okudda ku mwana wa mukyala we, namusobyako, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Omwana mugya nanyina, yasobezeddwako mu kiseera nga nnyina Zainabu Atayo, atambuddemu okubaako emirimu gyakola ng’amulekedde kitaawe.

Ku Poliisi, maama agambye nti yagenze okudda ng’omwana ali mu maziga kwekumutegeeza nti kitaawe amusobezaako namusuubizza okuwa swiiti bw’anaasirika oba okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Omwana okumwekebejja wakati mu kulukusa amaziga, asangiddwamu amazzi g’ekisajja mu bitundu by’ekyama ssaako ne ku bisambi.

Okusinzira kw’amyuka addumira Poliisi mu bitundu bya Aswa Victor Ahabwe, ssemaka Jamal akwattiddwa ku misango gy’okwata omwana era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu nga Poliisi bw’enoonyereza.