Omuyimbi Pia Pounds alaze nti ye mwetegefu okudda mu bigere bya Rema Namakula singa Eddy Kenzo amuwa omukisa okumusanyusa mu by’omukwano n’okumuggyako ebirowoozo.

Pia Pounds abadde nnyo mu mawulire nti ye ne Kenzo baali baagalana era mbu y’emu ku nsonga lwaki Kenzo yali amusembeza mu kibiina kye ekya Big Talent Entertainment.

Kigambibwa mu kiseera ekyo, Rema yafuna obutakaanya ne Kenzo ng’amulumiriza okwagala Pia Pounds era mu bbanga ttono, Pounds yali avudde mu kibiina kya Kenzo olw’ebigambo by’abantu n’obusungu bwa Rema.

Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala olwa Rema okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya.


Mu mbeera eyo, Pia Pounds yetadde ku muddaala okulaga nti alina buli kimu okudda mu bigere bya Rema kuba asobodde okulaga akabalaza ka vuvuzera mu kapale akaddugavu.

Wabula ku mukutu ogwa Instagram, omu ku bawagizi ba Pia Pounds amutabukidde era agambye nti, “Naye nga dala Kiki ennyo Pia pounds“.


Mu kiseera kino Kenzo alina omukisa okusalawo oba Pia Pounds agwanidde okudda mu bigere bya Rema oba alina okunoonya omukyala omulala.

Wabula abamu ku bawagizi ba Kenzo bagamba nti mu kiseera kino omuyimbi Lydia Jazmine yagwanidde okudda mu bigere bya Rema kuba naye mukyala alabika bulungi nnyo, ayimba bulungi, alina abawagizi ate kirabika ategeera ensonga z’omukwano.