Abaganda mu bitundu bya Kampala batabukidde bba wa Rema Namakula, Dr. Hamzah Ssebunya okuwebuula obuwangwa n’ennono olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku mukolo gw’okumwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Omukolo gwabadde mulungi nnyo, ebyokwerinda byabadde gulugulu, abantu banyumiddwa nnyo, banywedde n’okulya, abayimbi babadde bangi nnyo ne Rema yabadde musanyufu nnyo ku mukolo gwe.

Wadde bangi ku bannayuganda bakaaba obwavu, Dr. Hamzah yalaze nti ssente weeri kuba yasobodde okutwalira abazadde ebintu bingi nnyo era yawerekeddwako abantu abasukka mu 100 n’okusingira ddala abagagga b’omu Kampala nga bakulembeddwamu Ssentebe w’abagagga abeegattira mu kiibiina kya Kwagalana, Godfrey Kirumira.

Mu kiseera, waliwo abantu banyivu olwa Dr. Hamzah okuwebuula obuwangwa n’ennono olunnaku olw’eggulo.

Bagamba kyabadde kikyamu Dr. Hamzah okukyusiza engoye ku buko emirundi egisukka 3 ku mukolo wadde musajja alina ssente.

Wabula waliwo Sheikh agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti mu Busiraamu omuntu yenna alina okugoberera ekitabo kya Kulaani kiki kyekigamba.

Sheikh agamba nti Kulaani tegaana muntu yenna kukyusiza ngoye ku buko era Dr. Hamzah talina nsobi yonna gye yakoze.

Mungeri y’emu agambye nti wadde abantu balina okuwa ekitiibwa obuwangwa n’ennono, naye ekitabo kya Kulaani kisinga byonna.