Poliisi y’e Kabale atandiise okunoonyereza ku ngeri abantu babiri (2) gye battiddwamu mu ngeri y’okutwalira amateeka mu ngalo mu ggombolola y’e Butanda.

Patrick Kabunga myaka 47 ng’abadde musomesa ku Murungu public primary school era nga mutuuze ku kyalo Butebe mu ggombolola y’e Butanda yakubiddwa ku Mmande nga 18, November, 2019 mu katawuni k’e Butebe era kigambibwa yakubiddwa mutuuze munne, mukwano gwe Dickson Twakyire atemera mu gy’obukulu 32.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku ssaawa nga 5 ez’okumakya embeera y’omusomesa Kabunga yeyongedde okubiggya era yafiiridde mu kkubo nga bamutwala mu ddwaaliro e Kabale.

Amangu ddala, abatuuze bakakanye ku Dickson agambibwa okukuba omusomesa Kabunga ne bamukuba okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, emirambo gyombi gikwasiddwa  ab’enganda z’abagenzi okuziikibwa nga Poliisi bw’enoonya abantu bonna abatwalidde amateeka mu ngalo.