Omuyimbi Gravity Omutujju alaze nti y’omu ku bayimbi abalina talenti mu Uganda ate alina abawagizi ku myaka gyonna.
Ku Lwokutaano ekkiro, Gravity yabadde Kira ku Mariana Gardens n’abayimbi abalala okuli Rema Namakula, Madio, Micheal n’abalala.
Gravity bwe yalinye ku siteegi, waliwo ekyana ekyalinnye ku siteegi era wakati mu kuzina bombi, waaya ya Gravity yayombedde mu mpale, ekyawadde abadigize enseko.
Ku siteegi, Gravity yakubye ennyimba ez’enjawulo omuli Embuzi Zakutudde, Kappa yo, Ssimusango n’endala.