Omuyimbi Rema Namakula alaze nti ategeera kye bayita omukwano era mwetegefu okutunda bba Dr. Hamzah Ssebunya mu nsi yonna n’okulaga nti yawona Eddy Kenzo wadde sereebu.

Rema afulumizza oluyimba lw’omukwano ku bba Dr. Hamzah era essaawa yonna agenda kulufulumya era asobodde okweyambisa ebigambo by’omukwano byokka.

Okusinzira ku mukwano gwa Rema ategerekeseeko erya Shammy, Rema yakoze oluyimba okwebaza bba okumuwonya embeera embi n’okulaga nti mwetegefu okumuyita bba mu basajja bonna.

Shammy agabye nti, “Rema alina oluyimba lw’omukwano ku bba Hamzah, kye nzijukira baluyita ‘wamponya’ wabula mulimu ebigambo by’omukwano gwoka ku Hamzah n’okulaga nti yamuwonya embeera embi n’okumuwa essannyu mu laavu, automatically alaga nti yawona Kenzo kuba kirabika yali apipira mu laavu era y’emu ku nsonga lwaki yadduka awaka kuba yali tasobola kumalako ku nsonga z’omukwano“.

Ebigambo bya Shammy biraga nti mu kiseera kino Rema agenda kutandiika okufulumya ennyimba z’omukwano n’okuwaana abasajja kuba kati naye ali mu laavu era tetumusuubira kuddamu kuyimba nnyimba nga ‘siri Muyembe’.