Mu kiseera nga Dr. Hamzah Ssebunya akola kyonna ekisoboka okutikka mukyala we Rema Namakula olubuto, nate emu ku nsolo ezabalemesa akaboozi mu nsiko nga bagenze okulya obulamu ku Aparaa Safari Lodge ku Murchison Falls National Park eri mu ssannyu.

Sabiti ewedde, Hamzah yatwala Rema okulya obulamu okumuggyako ebirowoozo n’okumwebaza okukiriza okumwanjula mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Kigambibwa Hamzah yatwala Rema mu nsiko okulambula ebisolo kyokka wadde baali mu laavu, ensolo zaalemesa Rema okweyagala kuba yali azitya nnyo era Hamzah teyafuna mukisa gwonna kumunywegera wadde yali ayagala nnyo.

Emu ku nsolo ezaalemesa Rema okwerigomba mu nsiko nga zikanudde amaaso efunye olubuto, eraze lwaki Hamzah talina tageti
Mu kiseera kino agava ku Aparaa Safari Lodge galaga nti emu ku nsolo ezatiisa Rema yafunye olubuto era essaawa yonna agenda kuzaala.

Omu ku bakozi agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agaanye okwogera ekika kye nsolo kyokka atugambye nti y’emu kwezo ezaali mu kifo Rema ne Hamzah kye baalambula.