Omuyimbi Eddy Kenzo ayolekedde okugwa mu ssente singa atuunda enju ye esangibwa e Sseguku ku lwe Ntebbe.
Okusinzira ku mukwano gwa Kenzo ategerekeseeko erya Sam, “essaawa yonna enju etundibwa kuba Kenzo alabika tagyetaaga mu kiseera kino“.

Kenzo yayiseeko mu nnyumba eno ku Ssande n’asanga ng’ebintu bingi Rema Namakula yabitwala na ddala ebyo ebyali ebibye okuggyako entebe.
Rema eyafumbirwa Dr. Hamza Sebunya, oluvanyuma lwa Kenzo okumuleka mu nnyumba eno emyaka ebiri.
Wabula Kenzo bwe yalambudde amaka, yagambye nti alina ebirowoozo bingi nnyo buli lwayingira enju.

Kigambibwa Kenzo okugenda ku Ssande, yali atuukiridde abantu ab’enjawulo okumunoonyeza abaguzi.
Dr. Kim Ssembatya omu ku balina kampuni ezigula n’okutunda amayumba mu ggwanga, agambye nti Kenzo enju yagigula obukadde 500 kyokka mu kiseera eri mu kawumbi kamu n’okusoba.
Dr. Ssembatya agamba nti enju ya Kenzo eri mu kifo ekirungi ate bw’aba tali ku bwangu, agenda kufuna omuguzi alina ssente ezisukka mu kawumbi akamu kuba ekirungi enju erabika bulungi.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa oba ddala Kenzo enju agitunda kyokka waliwo ebigambo ebyogerwa nti mu kugigula, Rema yateekako ssente ze era mu kiseera kino azeetaaga mu bwangu.