Omugagga Suleiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga alabudde mugagga munne Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White okusasula ssente ezimubanjibwa ave mu kwebuzabuza.
Sabiti ewedde ku Lwokutaano, Bryan White yakwatiddwa ekitongole kya poliisi ekikola ku buzzi bw’emisango egy’amaanyi ekya Directorate of Criminal Investigations (DCI) e Kibuli ku bigambibwa nti abanjibwa bukadde bwa ssente.

Abamu ku abantu abageenze ku Poliisi olw’okubanja Bryan White ye ssentebe wa NRM mu buvanjuba bwa Uganda Capt. Mike Mukula agamba nti amubanja ssente mpitirivu.
Ate omwogezi e’ekitongole kya DCI ASP. Charles Twine yagambye nti Bryan White alina emisango egy’enjawulo omuli okutwala emmotoka z’abantu kyokka naalemwa okusasula ssente.

ASP.Twine agamba nti Bryan White yabalaze nga bwe yagula emmotoka ku Yassah Matovu Seguya n’alaga ne lisiiti za bbanka kyokka baagenze okunoonyereza n’okuzeetegereza nga nkadde zezimu ku ze yakozesa mu kugula emmotoka ezaasooka, ekyabanjibwa ensimbi z’emmotoka empya zeyasemba okutwala.
Omugagga Bryan White yakwatiddwa okuva mu makaage e Buziga, Makindye n’atwalibwa ku poliisi n’emmotoka bbiri ezigambibwa nti tanaba kuzisasula ate emmotoka ey’okusatu yagiddwa ku luguudo lwe Ntebbe.
Kigambibwa buli mmotoka egulwa wakati w’obukadde 300 – 350.

Ate Mukula ku poliisi yagambye nti Bryan White amubanja obukadde 200 ate Landiloodi we e Buziga agamba nti naye abanja nga kigambibwa obukadde buli wakati wa 300- 500.

Bryan White agamba nti waliwo abantu abamulwanyisa bagamba nti ‘bamafiya’ n’ekigendererwa eky’okumusanyawo era essaawa yonna agenda kuva mu Uganda.

Wabula omugagga SK Mbuga amwambalidde era agambye nti, “Bryan White alina okusasula ssente zonna ezimubanjibwa kuba abantu abamutwala mu kkooti buli omu alina ebiwandiiko ebituufu ebiraga nti abanjibwa, yatwala ebintu byabwe, alina okukomya okwekwasa bamafiya, asasule ssente ezimubanjibwa.