Kyaddaki eyali mukyala w’omugenzi AK47 Nnalongo Maggie avuddeyo ku by’omuyimbi Eddy Kenzo okusuubiza okumutwala mu mbuga z’amateeka.
Sabiti ewedde, Nnalongo aliko akatambi keyafulumya ku nsonga za Kenzo, Grenade ne Hamonize okuva mu ggwanga erya Tanzania.
Mu katambi, Nnalongo yagambye nti yafuna amawulire nti “Grenade bwe yali e Dubai baasula mu Room emu abantu basatu okuli Kenzo, Hamonize ne Grenade era nga balya bisiyaga“.
Ku lunnaku Olwomukaaga, Kenzo bwe yali ayogerako eri eggwanga, yagambye nti, “Mukyala wa Nnalongo omugenzi AK bw’anaaba afunye ebbaluwa alina okutulaga obukakafu, bwanaaba talina bukakafu alina okutwalibwa mu mateeka kuba akooye abantu okumwononera erinnya“.
Wabula Nnalongo Maggie bw’abadde ayogerako ne munnamawulire wa Bukedde TV ategerekeseeko erya Farouk, agambye nti ye mwetegefu ku nsonga yonna era alindiridde bbaluwa ya Kenzo.
Agamba nti, “Kenzo ekyo ky’ayogera nti agenda kumpereza ebbaluwa atwale mu mbuga z’amateeka era ebbaluwa ngirindiridde eno e London gye mbeera kubanga nze sigambangako nti Kenzo okola kino wabula nayogedde nti abantu bangamba but thank God ebintu ebimu bankubiranga screenshot“.
Eddoboozi lya Nnalongo