Kyaddaki ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama alambuludde nti omuntu yenna okulonda mu kalulu ka 2021, alina okwewandiisa n’akakiiko k’ebyokulonda.

Okwewandiisa, kwatandika nga 21, November, 2019 okutuukira ddala nga 11, December, 2019 mu ggwanga lyonna.

Wabula ssentebbe Byabakama agamba nti omuntu yekka, eyewandisiza yageenda kulonda wadde bangi bannansi balina ndaga muntu.

Byabakama agamba nti balina okuteeka mu nkola ssemateeka w’eggwanga, okukiriza omuntu yekka ali ku lukalala lwa balonzi okulonda abakulembeze be.

Mungeri y’emu agambye nti okwewandiisa okufuna ndaga muntu kirungi nnyo kuba kiraga nti oli munnayuganda kyokka tekitegeeza nti oli mulonzi.

Byabakama agamba nti bannayuganda bonna abasusizza emyaka 18 balina eddembe lyabwe okulonda kyokka omuntu yekka akirizibwa okulonda, alina okwewandiisa n’akakiiko k’ebyokulonda era erinnya lye, liyina okufulumira ku lukalala lwa balonzi.

Eddoboozi lya Byabakama