Omusibe eyakwattiddwa ku by’okubba embuzzi afiiridde mu kaduukulu k’amaggye ga UPDF e Habitat mu Kamaiba Ward mu tawuni y’e Kasese.
Edson Nzabalha myaka 30, abadde mutuuze ku kyalo Temangalo Cell mu Monisipaali y’e Kasese.
Okusinzira ku ssentebbe wa LC III mu kitundu ekyo, Margret Biira Mafuta, Nzabalha yakwattiddwa ng’ateeberezebwa okubba embuzzi bbiri (2), akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande.
Mafuta agamba nti Nzabalha yakwattiddwa ku biragiro bya ssentebbe w’ekyalo Hamada Njima ku misango gy’obubbi.
Agamba nti balina okunoonyereza ku kyaviriddeko Nzabalha okufa kuba yabadde alina kukwatibwa Poliisi.
Ssentebbe Njima agaanye okubaako kyayogera ku nsonga eyo.
Ate abatuuze b’e Temangalo nga bakulembeddwamu Augustine Kighina batabukidde ssentebbe Njima okutwala omusibe mu kaduukulu k’amaggye ate nga Poliisi yerina obuvunaanyizibwa okukwata abantu n’okunoonyereza ku misango.
Ate omwogezi w’amaggye mu kitundu ekyo, Captain Masumbuko Ssonko agambye nti Nzabalha yetugidde mu kaduukulu nga yasobodde okweyambisa empale ye.
Bw’abuuziddwa lwaki Nzabalha yatwaliddwa mu kaduukulu k’amaggye, Captain Masumbuko agambye nti amaggye ne Poliisi bakolagana mu kulwanyisa emisango.