Bya Nalule Aminah

Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agamba nti obutakola ku nsonga z’abantu, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bannayuganda benyigidde mu kulya enguzi.

Museveni agamba nti ebbula ly’emirimi mu ggwanga n’obwavu, bikoze kyamaanyi nnyo okusindikiriza abantu okwenyigira mu kubba ensimbi z’eggwanga.

Bw’abadde ayogerako eri abantu ku kisaawe e Kololo enkya ya leero oluvanyuma lw’okulemberamu okutambula okuva ku kibangiriza kya ssemateeka mu Kampala, Museveni asuubiza okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okukola ku nsonga eziwaliriza abantu okulya enguzi.

Mungeri y’emu azzeemu okujjukiza bannansi, engeri 4 ezigenda okuyambako mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Museveni agamba nti abantu okwenyigira mu kulima, okuvuba n’okulunda, amakolero, obuweereza ne tekinologiya, bigenda kuyamba nnyo abantu, okwetandikirawo emirimu.

Ate eri abantu bonna abenyigidde mu kulya enguzi mu ggwanga, Pulezidenti Museveni agambye nti ssente ezitwaliddwa mu kulya enguzi, zijjudde ebisiraani era y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bazitutte, basigala bali mu mbeera mbi.

Okutambula, okusoose mu byafaayo bya Uganda ku nsonga y’enguzi, Museveni yegatiddwako Ssaabalamuzi Bart Katureebe ku lw’ekitongole ekiramuzi, Palamenti ekulembeddwamu amyuka sipiika Jacob Oulanyah, bannadiini ab’enzikiriza ez’enjawulo n’abantu babuligyo era okutambula kutandiise ku ssaawa 2:30 ez’okumakya.

Ku lw’ekitongole ekiramuzi, Ssaabalamuzi Katureebe asuubiza okwenyigira mu kulwanyisa enguzi nga ne ku lwa Palamenti, Oulanyah asuubiza ku nsonga y’emu.

Okutambula kwa leero, kutambulidde ku mulamwa ‘okulwanyisa enguzi mu Uganda, kitandikira ku nze”.