Poliisi y’e Jinja, etandiise okunoonyereza ku ngeri omusirikale mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi ekya Star React Security Guard Limited gy’akubye omuyizi ku yunivasite ya Kampala university ettabi lye Jinja, essasi erimutiddewo.

Omuyizi attiddwa, ategerekesenga Isaac Katagwa ng’abadde asoma ddiguli mu by’obulambuzi era abadde mu mwaka gwe ogw’okusatu ng’akubiddwa essasi ku ssaawa 2 n’eddakika 45 ez’ekkiro.

Okusinzira ku muyizi agaanye okwatuukiriza erinnya lye, yawulidde essasi kwekudduka, yagenze okutuuka nga mukwano gwe Katagwa agudde ku ttaka amaze okufa era essasi, lyavudde mu mugongo.

Ate omu ku basomesa nga naye agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti omugenzi abadde alina obutakaanya n’omusirikale era abadde awanyisiganya ebigambo, okutuusa lwakubiddwa.

Poliisi okuva e Jinja ku biragiro by’addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Godwin Ochaku esobodde okwekebejja ekifo omulambo wegusangiddwa n’okulemesa abayizi okulinyirira ekifo kuba kisobola okutataaganya okunoonyereza. Omulambo gwa Katagwa gugiddwa ku yunivasite ku ssaawa nga 4:45 ez’ekkiro negutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Jinja okwekebejjebwa.

Ate omusirikale, Poliisi emugalidde ku kitebe kya Poliisi e Jinja wadde egaanye okwatuukiriza ebimukwatako. Ekifaananyi kya Daily Monitor