Poliisi ekutte abantu munaana (8) ku by’okutwalira amateeka mu ngalo ne batta omusajja ku by’okubba omufaliso ku kitanda, ku ssaawa 3 ez’ekkiro, ekikeseza olunaku lwa leero.

Abakwattiddwa bonna batuuze ku kyalo Nyagisenyi mu ggombolola y’e Nyarusiza mu disitulikiti y’e Kisoro ku by’okutta omusajja, atemera mu gy’obukulu 30.

Abakwate kuliko Mbabajende James myaka 80, Ndazigaruye David 45, Munyamasoko Christopher 52, .Habarurema Gerald 30 ne Turinayo Ivan 20.

Abalala ye Halerimana Daniel 28, Tumwesigye Laban 23 ne Tushime Kellen 24.

Kigambibwa, omusajja yayingidde enju y’omu ku batuuze ategerekeseko erya Mbabajende okubba omufaliso era yasangiddwa lubona.

Ssemaka yakubye enduulu, abatuuze ne bakungaana era omusajja yakubiddwa emiggo, amayinja n’ensabaggere okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Kisoro okwekebejjebwa ate abantu 8 bakwattiddwa ku by’okutwalira amateeka mu ngalo ne batta omuntu mu kifo ky’okuyita Poliisi.

Maate avumiridde ekikolwa eky’okutwalira amateeka mu ngalo era asabye abatuuze okukolagana ne Poliisi ku buli nsonga yonna.