Poliisi y’e Kajjansi ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba n’okutta omuntu.

Abakwattiddwa kuliko Kamu Nanjo ne Odema Isaac.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango nga 3, December, 2019, ssemaka Ssekayi Simon myaka 60 nga mutuuze we Kitovu, Kitonde mu ggombolola y’e Ssisa mu disitulikiti y’e Wakiso yaddukidde ku poliisi ku by’okubba ente ze 24 n’endiga 4 nga zibaliribwamu obukadde bwa shs 36 n’okubuzibwawo kw’omulaalo eyabadde alunda ente ategerekeseeko erya Kamugisha.

Onyango agamba nti amawulire g’okubba ente n’endiga gasindikiddwa ku Poliisi ez’enjawulo era amangu ddala Poliisi y’e Kikajo yakutte abantu babiri (2) nga balina ente kyokka nga tebalina kiwandiiko kyonna.

Oluvanyuma bakwatte, bategeezeza Poliisi nti omulaalo Kamugisha  baamusse.

Kamu ne Odema baakulembeddemu Poliisi okubatwala mu kifo awali omulambo gwa Kamugisha era gwazuuliddwa ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Onyango agamba nti Kamu ne Odema baguddwako omusango gw’obubbi n’obutemu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ate ssemaka Ssekayi Poliisi emuddiza ente ze.