Kyaddaki Ssenga Kawomera era avuddeyo ku nsonga entuufu eyavaako Rema Namakula okusuulawo Eddy Kenzo kuba yali afunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya ategeera ensonga z’amaka.
Ssenga Kawomera agamba nti kigambibwa Kenzo yali yasuula Rema mu nju emyaka egisoba mw’ebiri olw’obutakaanya wakati waabwe.

Mungeri y’emu agambye nti Kenzo okudduka awaka mulimu ensonga 2 omuli okwesonyiwa omukyala olw’empisa embi n’okulaga nti yakoowa Rema wadde mukyala mulungi.

Ssenga Kawomera agamba nti Rema ng’omukyala omulala yenna, naye muntu era omubiri gwali gulina okubanja era mu mbeera eyo, yali alina okunoonya omusajja omulala yenna okudda mu bigere bya Kenzo kuba yali adduse obuvunaanyizibwa bw’amaka.

Agamba nti Rema okwanjula Dr. Hamzah mu bazadde nga yaakava mu bufumbo bwa Kenzo, tekyewunyisa kuba bangi ku bakyala abali mu bufumbo mu Uganda, balinayo abasajja abalala abatuukiriza ensonga z’omukwano ng’omusajja atambuddemu.

Mu kiseera nga Kenzo asudde Rema mu maka e Sseguku, Dr. Hamzah yafuna omukisa okugenda mu mutima gwa Rema ate kirabika musajja mukwata mpola atya Katonda ng’ategeera bulungi ensonga z’omukwano. Mu myaka 2 Hamzah yali ku kotulakiti yakuwa Rema ssannyu mu kiseera nga Kenzo addukidde ebweru w’eggwanga era ng’omukyala omulala yenna, Dr. Hamzah yakola bulungi nnyo emirimu gye okwerabiza Rema mukwano gwe Kenzo era omukyala yamutwala” bigambo bya Ssenga Hazmah.