Bob Anichan eyakwatibwa ku misango gy’okutta ba Agent ba Mobile Money e Zanna yegaanye emisango gy’okwenyigira mu kutta.
Abattibwa kuliko Harriet Nalwadda ne Moreen Nakabuubi nga baakubwa amasasi, abatemu abaali ku bodaboda nga 10, Ogwomukaaga, 2019 oluvanyuma ne batwala ssente obukadde 6 n’emitwalo 80 (6,800,0000).
Oluvanyuma, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu 4 okuli Bob Anichan eyadduka mu magye ga UPDF, Dennis Mangusho nga naye yaliko munnamaggye, Stanley Mulunda amanyikiddwa nga Jumba Frank nga mutuuze Masanafu ssaako ne Issa Ntale amanyikiddwa nga Ganja ng’avuga bodaboda.
Mu kkooti y’amaggye ekubirizibwa Lt General Andrew Gutti, oludda oluwaabi, lwaleeta abajjulizi 16 era amangu ddala, kkooti yategeeza nti abavunaanibwa balina emisango, gye bateekeddwa okwewozaako.
Enkya ya leero, Bob Anichan yasoose okwewozaako era agambye nti mu kiseera ky’okutta abantu abo, yali mu kkomera nga yakwatibwa aba Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ku misango gy’okubba emmudnu mu bitundu bye Singo.
Anichan era agambye nti yakwatibwa okuva mu disitulikiti y’e Zombo nga 1, June, 2019 era mu kiseera ng’ettemu ligenda maaso yali mu kkomera.
Wabula ssentebbe wa kkooti Lt. General Andrew Gutti, amutabukidde okubuzabuza kkooti bw’amujjukiza nti ku bajjulizi 16, 13 baamulumiriza nti yafulumya amasasi agattirawo Nalwadda ne munne.
Omusango gukyagenda maaso era ssentebbe Gutti agwongezaayo okutuusa olunnaku olw’enkya nga 10, omwezi gunno ogwa December, Anichan ne banne okuddamu okwewozaako.