Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mpigi Muhammad Kasakkya asindise ku limanda mu kkomera, omukulu w’essomero lya Wamala Mixed Day and Boarding Primary ne Secondary school e Mpambire mu disitulikiti y’e Mpigi, Asadu Wamala ku misango esatu (3) omuli egy’okusobya ku baana abato n’okubatigaatiga.

Wamala asimbiddwa mu kkooti ne Metuloni w’essomero Halima Nansubuga ku bigambibwa nti yakola kyamaanyi okusindika abaana eri omukulu w’essomero okubasobyako.

Mu kkooti, Wamala takiriziddwa kwogera kigambo kyonna kuba ali ku misango gya naggomola, egiwulirwa kkooti enkulu yokka ate Metuloni Nansubuga yegaanye emisango gy’okuyambako mukama we Wamala okusobya ku baana.

Omulamuzi Kasakkya bonna abasindise ku limanda okutuusa nga 7, January, 2020 nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Timothy Aduti okutegeeza nti bakyanoonyereza.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu mwezi gwekkumi, wamala yasobya ku bayizi babiri (2) wakati w’emyaka 16 ne 17 ng’ayambibwako Metuloni w’essomero Nansubuga saako n’okubatigaatiga bangi ku bayizi be.

Wabula Wamala agamba nti ebyobufuzi n’okwagala okubba eby’obugagga bye y’emu ku nsonga lwaki yaguddwako emisango egyo, egy’okudda ku baana abato okubasobyako.

Mu bigambo bye, anokoddeyo omwami Kasagga Haruna omu kw’abo abakulembeddwamu okutwala emmaali ye.

Eddoboozi lya Wamala