Bya Nakaayi Rashidah

Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo ennaku, bannayuganda zebalina kwewandiisa n’okutwala enkyukakyuka zebetaaga, mu kulonda okubindabinda okwa 2021, omuli okukyusa ebifo gye betaaga okulondera.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, okwewandiisa kwongezeddwayo ennaku 5 okuwa omukisa bannayuganda bonna okwewandiisa okutuusa nga 16, omwezi gunno ogwa December.

Mungeri y’emu agambye nti bafunye okuwabulwa okuva mu bakulembeze ab’enjawulo okwongezaayo ennaku ate ne bannayuganda abavuddeyo okwewandiisa bakyali bangi ddala.

Byabakama asabye bannayuganda abatuusizza emyaka egironda okweyambisa ennaku 5 ezongeddwamu okwewandiisa, 2021 basobole okwenyigira mu kulonda.

Mu Uganda yonna, okwewandiisa kwatandiika nga 21, November, 2019 era kubadde kukomekerezebwa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu, nga 11, December, 2019 wabula ekirungi bongezaamu ennaku 5, ezigenda okugwako sabiti ejja ku Mmanda nga 16, December.