Omuyimbi Rema Namakula omwaka 2020 agutandiise n’amaannyi era ye muyimbi asoose okufulumya oluyimba olupya mu 2020.
Rema afulumizza oluyimba ‘Clear‘ era asobodde okulweyambisa okutegeeza ensi nti bba ali ‘clear’ asinga ku basajja abalala bonna.

Rema agamba nti oluyimba Clear lwawandiikiddwa Daddy Andre era mu luyimba agamba nti alina essannyu, ekirooto kye kyatuuka era asuubizza obutamulumya mu nsonga z’obufumbo.


Ebigambo bya Rema, biraga nti alina mu ssannyu kuba yafuna omusajja omutuufu Dr. Hamzah mu bulamu bwe kuba Kenzo yali amudingisa.