Bya Nalule Aminah

Kyaddaki ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebigezo by’abayizi abatuula omwaka oguwedde ogwa 2019, ekibiina eky’omusanvu (P7).

Omukolo gubadde ku ssomero lya Kampala Parents nga gukulembeddwamu Kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza Janet Kataha Museveni.

Ebivudde mu bigezo, biraga bayizi nti 69,243 bayitidde mu ddaala erisooka nga bafunye ‘First Grade’ (1st Grade), 318,155 bafunye 2nd Grade, 140,420 bafunye 3rd Grade, 89,332 bayitidde mu 4th Grade ate abayizi 66,152 bagudde n’enkoona n’enywa.

Ate abayizi 1,512 ebigezo bikwatiddwa, nga kigambibwa nti benyigira mu kumenya amateeka omuli okwenyigira mu kukopa.

Abayizi 62 bewandiisa okutuula ebigezo mu kkomera kyokka batuula bali 56. Bonna tewali yafunye 1st Grade, 31 bafunye 2nd Grade, 19 3rd Grade, 4th Grade ate 2 bagudde.

Mungeri y’emu ku bayizi 695,804 abewandiisa okutuula ebigezo, 473,893 babadde mu masomero ga bonna basome ku nkola eya UPE ate 221,912 gabwananyini.

Omwaka 2019, abayizi batuulira mu masomero 13,475 nga abalenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala. Abaana bonna basinze kuyita Olungereza ssaako ne SST

Mu bibuuzi bino, abaana abalenzi abawerera daala emitwalo 39,182 bayittira mu ddaala erisooka ate abawala abayittira mu ddala erisooka bali emitwalo 30,061, ate abo abayittira mu ddaala ery’okubiri abalenzi bali emitwalo 159,923 ate abawala bali emitwalo 158,232, ate abayittira mu ddaala ery’okusattu abalenzi bali emitwalo 60,244 ate abawala bali emitwalo 80,176, ate abayittira mu ddala eryokuna abalenzi bali emitwalo 43,868 ate abawala bali emitwalo 45, 464 ate bbo abagwa abalenzi bali emitwalo 26,976 ate abawala bali emitwalo 39, 176.

Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB, Dan Odongo, ebigezo ebikwattiddwa, abakulu b’essomero bakyalina akadde okwewozaako mu kakiiko kaabwe ak’ebyokwerinda.