Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde nga bw’atalina konsati nga 7, March, 2020.

Ku ntandikwa ya sabiti eno, ebigambo bingi ebibadde biyitingana nti Kenzo alina konsati nga 7, March, 2020 e Kololo, okusanyusa abawagizi be.

Wabula abamu ku bannayuganda abalumirirwa ekisaawe ky’okuyimba baavuddeyo mu bwangu nga bagamba nti Kenzo ne Cindy okuba ne Konsati ku lunnaku lwe lumu mu Kampala, kigenda kwawulamu abawagizi n’okuleeta empalana.

Wabula Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza abawagizi be nti nga 7, March, 2020, talina konsati yonna mu Uganda wabula bonna okuvaayo mu bungi okuwagira cindy ku Lugogo cricket oval, “I don’t have a show on the same date with Cindy vakubano abanonya Facebook likes”.

Ku nsonga eyo, omusasi waffe ayogedde ne Kenzo okakasa oba talina konsati era agambye nti ku lunnaku olwo, lwa Cindy, ye talinako kivvulu kyonna.

Eddoboozi lya Kenzo