Ssentebbe w’abagagga kwagalana mu Kampala Godfrey Kirumira alangiridde entekateeka z’embaga ya mutabani we Dr. Hamzah Ssebunya ne mukyala we Rema Namakula.
Rema eyali mukyala wa Eddy Kenzo, yayanjula bba omuggya Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka ku mukolo ogwaliko abagagga ab’enjawulo mu Kampala omuli Hajji Hamis Kiggundu, Teopisita Nabbaale, Freeman Kiyimba n’abalala.

Mu kiseera kino bangi ku bannayuganda babadde bebuuza embaga ya Rema eriyo mu mwaka ki kuba bangi bagamba nti erina okuba eyebyafaayo ku mbaga endala zonna ezibadde mu ggwanga Uganda.
Wabula omugagga Kirumira bwe yabadde ku mukolo gwa mutabani we Dr.Hamzah ku Mestil Hotel e Nsambya ogw’okufuna diguli y’obusawo, yagambye nti, ” bye tuliinze bingi, katumale Valentayini launch yaffe wali ku Africana ate tutandiike enkola empya, mumanyi twabasuubiza embaga, mugirindiridde, tuli eno tukola tuli mu kyoto mujja kutuwulira, mujja kuwulira ate oba munaakola mutya ku lunno, kigenda kuyitawo“.
Vidiyo ya MC Ibra owa Wolokoso