Omuyimbi Eddy Kenzo alaze lwaki mu Uganda y’omu ku bayimbi abalina okwebuzibwako mu kisaawe ky’okuyimba.
Kenzo akawungeezi ka leero afulumizza vidiyo y’oluyimba ‘Tweyagale’ kyokka vidiyo erabika bulungi nnyo era alaze nti ddala y’omu ku bayimbi abasinga mu Africa, abagwanidde okuwangula ‘Award’ ez’enjawulo kuba kati kyakulabirako eri abayimbi abalala mu Africa n’ensi yonna.

Kenzo asobodde okweyambisa olulimi Oluganda okutunda Uganda mu nsi yonna era olunnaku olw’eggulo ku Mmande yasisinkanyeko sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ku Palamenti ku nsonga ez’enjawulo.
Mu kwogera kwe, Kenzo yasabye Sipiika Kadaga Gavumenti okulowoozo ku ky’okusiima abayimbi abakoze ebintu eby’enjawulo okutunda eggwanga.

Mu Uganda, tewali kubusabuusa kwonna, Kenzo agwanidde okusiimwa kuba ye muyimbi yekka alina Award ya BET, Afrima Awards n’endala era y’omu ku bayimbi abawadde abantu emirimu kuba alina ekibiina kya Big Talent ekikozesa abavubuka ab’enjawulo, y’omu ku basiinga okuteeka ssente mu vidiyo, okusobola okuwa bannayuganda ebintu ebirungi.