Mu kiseera ng’abantu balindiridde okusanyusa baganzi baabwe ku Valentayine, nate Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde ku sitayiro za laavu ezitambula n’emyaka gy’olina.

Ssenga Kawomera agamba nti abaagalana wakati w’emyaka 18 – 35 batera okwettanira sitayiro nga ey’omusajja okusinziira emabega, omuwala okubeera mu mitambo n’endala kuba baba bakyali bato nga basobola bulungi okukola ebintu eby’enjawulo mu laavu.

Mungeri y’emu agambye nti, emyaka egyo buli muntu aba alina okunoonyereza okusobola okusanyusa munne mu kaboozi.

Ate wakati w’emyaka 25 – 35, Ssenga Kawomera agamba nti obwagazi buba butandise okwesala kyokka baba bategeera bulungi nnyo ensonga z’omukwano era abasajja ku myaka egyo, baba baagala nnyo okuteeka mu nkola buli sitayiro za laavu.

Ssenga agamba nti wakati w’emyaka egyo, bangi baba bafumbo kyokka bategera nnyo okweyambisa sitayiro omuli misonale, kajiiko, ey’ekigaali, kabuzi n’endala.

Ssenga Kawomera agamba nti wakati w’emyaka 36 – 50, abakyala banyumirwa nnyo akaboozi kuba bangi baba tebakyazaala nga balowooza ku nsonga emu yokka, kwegatta.

Ku myaka egyo, Sitayiro ya misonale y’esinga okubanguyira kuba teyeetaaga maanyi mangi ate endala ziyinza okubazibuwalira kuba zetaaga amaanyi okusanyusa munno.

Okuva ku myaka 50 okudda waggulu, Ssenga Kawomera agamba nti beetaaga sitayiro ezibanguyira kuba baba tebakyalina maanyi okwewuuba.

Sitayiro omuli okuyimirira, okwewanirira ennyo, okusitula ku munno n’endala ezeetaaga amaanyi era bazigendako mpola nga bali mu laavu.