Nga wasigadde annaku musanvu (7) zokka okutuuka ku lunnaku mulindwa olwa Valentayini, nate Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde ebika bya Kkiisi, abaagalana bye balina okwekwata okukyamula baganzi baabwe.

SEMBERA – Ssenga Kawomera agamba nti Wano omu asobola okusembeza akalevu ka munne mu ngeri y’okumusulika, oluvannyuma n’amukwata ku matama n’amunywegera mpolampola.

NJIDDEYIDDE – Kino kye kika kya kkiisi ekisinga okuwoomera abaagalana okusinzira ku Ssenga Kawomera naddala nga munno agitegeera bulungi. Ssenga agamba nti Wano omu ayinza okuluma omumwa gwa munne ogwa wansi era mpolampola wakati mu laavu.

NKWEWULIRA – Ssenga agamba nti kkiisi nkwewulira, omu addira olulimi n’aluyisa ku mimwa gya munne, ku lulimi ne ku bibuno. Omu bw’atandika n’amaliriza ne munne n’akola kye kimu olwo ne kyetinda kuba buli omu aba yeesiga munne.

NKWESUNGA – Ssenga Kawomera agamba nti kkiisi ekika kino, abaagalana bagattamu okweruma mu ngeri y’empolampola. Wabula kino babikola ekiseera kitono okwewala okulumya munno. Okweruma kabonero akalaga nti leero nkulina.

MPEERAAKO WANO – Kkiisi ekika kino, Ssenga Kawomera agamba nti omusajja oba omukyala atunula munne mu maaso mu kiseera ky’okwenywegera nga bw’amukomberera era temuba kwebuzaabuza kwonna.

TUNADDAMU – Kkiisi tunaddamu ogikuba munno ng’omusiibula oluvanyuma lw’okukola ebintu byamwe.

AK’OMU BBANGA – Ssenga Kawomera agamba nti omusajja oba omukyala singa aba wala ku munne, asobola okumusindikira kkiisi.