Kyaddaki Omugagga SK Mbuga alaze engeri 2, abantu gye babibwamu nga kivudde ku butamanya.
SK Mbuga y’omu ku bagagga mu ggwanga Uganda abakoze ebintu eby’enjawulo okuwa abantu emirimu n’okusingira ddala abavubuka kuba mu kiseera alina Supermarket, Ttiivi n’emirimu emirala.

Mbuga agamba nti mu nsi yonna n’okusingira ddala mu Uganda, abantu bangi balimbibwa n’okuferebwa nga kivudde ku bintu 2 omuli okukiriza eby’obulimba n’okulemwa okukiriza ekintu ekituufu, “There are two ways to be fooled. One is to believe what isn’t true; the other is to refuse to believe what is true“.

Ng’omusajja omugagga, kiraga nti naye yaliko mu mbeera y’okulimbibwa ne bamufera mu ngeri ez’enjawulo nga okuvaayo mu kiseera kino okulabula bannayuganda, kirungi nnyo kuba kiyambako abantu okuteekayo omutima okunoonyereza ku nsonga yonna nga tebanaba kulimbibwa.