Bya Nakaayi Rashidah
Poliisi y’e Butambala ekutte jjajja Kiwanuka Haruna myaka 70 ku by’okusobya ku muzukkulu we myaka 4.
Kiwanuka yasobya muzukkulu we emanju w’akabuyonjo sabiti ewedde ku Mmande nga 3, (Febwali, 2020) ku ssaawa 12 ez’akawungeezi ku kyalo kye Bulawa mu ggombolola y’e Kalamba mu disitulikiti y’e Butambala.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omuzukkulu yategeeza ku nnyina ku bya jjajja we okumusobyako era amangu ddala maama, yaddukira ku Poliisi.
Enanga agamba nti Kiwanuka ali mu kkomera ku Poliisi e Butambala ku musango gw’okujjula ebitanajja era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Mungeri y’emu Poliisi, esabye abasawo omwana okuteeka ku ddagala erimutangira okulwala endwadde yonna omuli ne siriimu.
Eddoboozi lya Enanga