Bya Nakaayi Rashidah

Poliisi y’e Buikwe ekutte omuwala ku by’okubba omwana wa mukwano gwe oluvanyuma lw’okuwudiisa muganzi we nti yamuzaalira omwana.

Ana Ajiro yakwattiddwa ku by’okubba omwana wa mukwano gwe Nansubuga Rashidah omutuuze we Katwe sabiti ewedde ku Lwokuna.

Omwana eyabiddwa Lumbazi Shirima, yabadde muwala nga wa sabiti musanvu (7).

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enganga, Ajiro yalabirizza mukwano gwe Nansubuga ng’ageenze mukinaabiro okunabako, okutwala omwana we.

Enanga agamba nti Poliisi, yakulungudde ennaku mukaaga (6) okunoonya Ajiro n’omwana okutuusa lwe yakwattiddwa.

Omwana, bamukwasizza abazadde ng’ali mu mbeera nungi ate Ajiro ali ku Poliisi y’e Buikwe ku misango gy’okubba omwana.

Eddoboozi lya Enanga