Mu Uganda, omuyimbi Eddy Kenzo y’omu ku bayimbi abalina omukisa kuba buli luyimba lwafulumya, abantu batandikirawo okulwagala.
Kenzo mu kiseera kino alina oluyimba ‘Tweyagale’ era ku mukutu ogwa U-tube, lwakalabwa abantu 493,785 okuva nga 4, Febwali, 2020.
Mu ngeri y’okulaga nti alina abawagizi, Kenzo atadde vidiyo ku mukutu gwe ogwa Instagram nga waliwo ekyana, kiraga nti kiri mu mmuudu n’oluyimba lwa Tweyagale.

Wadde waliwo abantu ab’enjawulo abakoze vidiyo nga bazina oluyimba lwa Kenzo, Tweyagale, kyokka ekyana kifunye omukisa olw’ensonga ez’enjawulo okuba ku mukutu ogwa Kenzo kuba tewali kubuusabusa kwona ekyana kirina omutima gw’ebbeere, kirabika bulungi, amaaso ga laavu are kirabika anyumirwa omuziki.
Mu kiseera kino, Kenzo talina mukyala oluvanyuma lwa Rema Namakula okugeenda era ali mu kunoonya mukyala era y’emu ku nsonga lwaki ebyana birina okweteeka ku katale kuba bayinza okuba begwanyiza Kenzo.
https://www.instagram.com/p/B8eDkB0nZk1/