Omuyimbi Eddy Kenzo awadde ezimu ku nsonga lwaki Rema Namakula akyamwetaaga mu bulamu bwe wadde yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya.
Rema yayanjula Dr. Hamzah nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo eyali bba Kenzo.


Wabula Kenzo bwe yabadde alangirira ekivvulu kye ekituumiddwa ‘Kenzo Festival’ nga 28, March, 2020 ku kisaawe e Kololo, yagambye nti, “Rema mukwano gwange nnyo ate nze Taata Aamaal, sisobola kuyisaamu x wange maaso wadde okumwogerera amafuukuule“.

Mu ngeri y’emu Kenzo ayise Rema ne bba Dr. Hamzah mu kivvulu kye era agamba nti ye yetegese bulungi ddala okubasanyusa era Rema wakuweebwa omukisa okuyimba ng’abayimbi abalala.

Rema yazaalira Kenzo omwana omu yekka Aamaal Musuuza Malaika wakati mu laavu kyokka mu kiseera kino ebintu byatabuka dda.