Kyaddaki munna NRM Full Figure ayogedde amazima lwaki kkansala Ssegirinya Mohammed amuwalana.

Full Figure yakutte Ssegirinya amataayi nga bw’amulangira nti yamukwana n’amugaana era y’emu ku nsonga lwaki amwogerera amafuukuule.

Mungeri y’emu Full Figure yatabukidde Ssegirinya nti lwaki asukkiridde okwogera ku Gavumenti ya Pulezidenti Museveni eby’obulimba.

Ssegirinya yabadde ava ku Bukedde TV kwe kusisinkana Full Figure mu kompawundi era ettaayi baamuwaliriza okugigyamu okugikwata mu ngalo era amangu ddala yalinye emmotoka ye ekika kya Benz n’agenda

Ekifaananyi kya Bukedde