Omusota gulemeseza abatuuze okwawula omusajja abadde alemedde mu bukyala mu loogi nga bagenze mu kwenda.
Kigambibwa, omukyala bufumbo kyokka abadde alina abasajja ebbali.
Wabula asobeddwa bw’agenze ne muganzi we mu loogi okusinda omukwano era mu lawundi esooka, omusajja alemedde munda.
Omukyala akubye enduulu esombodde abatuuze okuyambibwa kyokka bagenze okumenya oluggi, ng’omusota guli waggulu ku buliri okulemesa omutuuze yenna, okusembera okumpi n’ekitanda.

Abatuuze, basabye omukyala ennamba y’essimu, okutegeeza ku bba, era omusajja olutuuse, omusota gutambuliddewo kyokka omusajja azirikiddewo olw’okusanga omukyala ng’ali bukunya n’omusajja omulala.
Embeera eyo, ebadde mu kibuga Harare mu ggwanga erya Zimbabwe.

Vidiyo

Bya Mbare Times