Ssemaka Daniel Kwame Baah myaka 42 asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 20 lwa kusobya ku mwana we n’amutikka n’olubuto.

Ssemaka Kwame y’omu ku basuubuzi abagundivu mu kibuga Accra mu ggwanga erya Ghana.

Mu kkooti, asingisiddwa emisango omuli okusobya ku mwana omuto n’okumutikka olubuto ate nga muzadde we.

Kwame akirizza emisango gyonna, omulamuzi kwe kumusiba emyaka 20.

Muwala we gweyasobyako, mu kkooti agambye nti omulundi ogwasooka mu Gwomukaaga 2019 yali yeebase, kitaawe namusonseka olugalo mu bitundu by’ekyama kwe kumusuubiza okumutta singa anyumizaako omuntu yenna.

Omuwala akulukuse amaziga, bw’ategezeza nti kitaawe, abadde amusobyako obudde bwonna nga n’ennaku ezimu,  amulemesa okugenda ku ssomero, nga yetegese okumusobyako emisana okutuusa lwe yamutisse olubuto.

Mungeri y’emu ne mukyala wa Kwame, naye akulukuse amaziga mu kkooti kyokka olw’okuswala, agaanye okuvaamu ekigambo kyonna.