Bya Nalule Aminah

Kyaddaki ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bigezo by’abayizi abatuula S6 omwaka oguwedde ogwa 2019.

Okusinzira ku UNEB, abayizi 104,476 bebatuula ebigezo omwaka oguwedde mu masomero (centres) 2,298.

Abayizi 1,433 bagudde n’enkoona n’enywa ate ebigezo by’abayizi 126 okuva mu ‘Centres 26 bikwatiddwa lwa kukoppa.

Abayizi 38,737 bafunye 3P , 26,986 bafunye 2P ate abayizi 23,327 bafunye 1P.

Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, abayizi abawala balebeesezza abalenzi mu kubala, okuba ebifaananyi, eby’obulimi ssaako ne Physics ate abalenzi bakoze bulungi nnyo mu Chemistry, Biology, okuba ebifaananyi ne General paper.

Ssentebe w’ekitongole ky’ebigezo ki UNEB Mary Okwakol agambye nti ku mulundi gunno, omuwendo gw’abayizi abenyigidde mu kubba ebigezo gubadde mutono ddala.

Mu ggwanga lyonna, omuyizi Kaalalagho Denise okuva ku Iganga Secondary school nga muzibe, yasiinze abayizi abaliko obulemu nga yakoze bulungi nnyo ebyafaayo, eby’eddini ne Literature nga yafunye BBA.

Mu kufulumya ebigezo ku offiisi za Ssaabaminisita mu Kampala, Kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga, Janet Kataaha Museveni ayozayozezza abayizi abakoze obulungi ebigezo era abasibiridde entanda, okwettanira emisomo gy’omutwe kuba kigenda kuyamba nnyo, okwetandikirawo emirimu.