Omuyimbi Rema Namakula alangiridde okutambula mu ggwanga lyonna okubiriza abantu okujjumbira okugaba omusaayi.
Omwezi oguwedde ogwa Febwali, Rema ne bba Dr. Hamzah Ssebunya baweereddwa obwa Ambasadda bwa Mengo Rotary Blood Bank okuyambako mu kulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.

Mu kiseera kino, Rema agamba nti alina ntekateeka okusomesa abantu ebirungi ebiri mu kugaba omusaayi.
Agamba nti mu kiseera kino tewali muntu yenna alina kufa olw’omusaayi obutabaawo n’okusingira abakyala abafiira mu lutalo lw’okuzaala.

Rema agamba nti betaaga lita z’omusaayi 100,000 okutaasa bannayuganda okufa era buli muntu yenna alina okwenyigiramu kuba buli muntu yetaaga omusaayi.