Bya Nalule Aminah
Mu Kampala, Kansala we Lubaga North mu lukiiko lwa KCCA Abubakar Kawalya, alondeddwa nga sipiika w’olukiiko lwa KCCA.
Kawalya alangiriddwa omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Miriam Ayo Okello.
Okusinzira ku mulamuzi Ayo, Kawalya afunye obululu 17 ate Kansala we Makerere Doreen Nyanjura amalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 14.
Kawalya nga munnakibiina kya FDC yazze nga nampa wengwa okuvuganya munnakiina kye Nyanjura eyakutte kaadi y’ekibiina kya FDC.
Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago abadde awagira Nyanjura okulya obwa sipiika bw’olukiiko wabula awanguddwa.
Ate Kansala we Kawempe, Muhammad Segirinya akutte kyakusatu ng’afunye akalulu kamu (1).
Bakansala abalonze babadde 32 era tewali kalulu kafudde.
Ate mu Divizoni y’e Lubaga Musa Mbazira yalondeddwa ng’afunye obululu 27 ate munne Henry Lutwama afunye 19.
E Kawempe, Onesmas Mutumba awangudde ng’afunye obululu 31 okumegga Stephen Mungi amaliridde mu ky’okubiri n’obululu 16.