Abalimi okwetoloola eggwanga lyonna naddala abakosebwa ennyo ekyeya boolekedde okufuna ku buwerero oluvanyuma lwa gavumenti ya Uganda okuvaayo n’enteekateeka ya nsimbi za Uganda ezisoba mu Biriyoni emu okudduukirira abalimi bano okusobola okufukirira ebirime byabwe.

Ekyama kino kibotoddwa minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’ensimbi mu ggwanga n’okuteekerateekera eggwanga David Bahati.

Bahati agamba nti ssente zigenda kubayambako abalimi okufuna eddagala ettuufu mu kufuyira ebirime mu ggwanga lyonna.

Minisita Bahati yabadde mu Serena Hotel mu Kampala ng’ekitongole ekitakabanira abalimi mu ggwanga n’okutumbul ennima y’omulembe abeegattira mu kibiina kya Agriculture Business Initiative bajjaguza okuweza emyaka 10 mu kuyamba abalimi mu ggwanga.

Ate ssenkulu wa Agriculture Business Initiative Sarah Walusimbi agamba nti Gavumenti okuteeka ssente mu by’obulimi kigenda kuyamba abalimi okumanyisibwa ku nnima y’omulembe n’okulaga bannansi ebirungi ebiri mu by’obulimi n’okutumbula omutindo.

Walusimbi era agamba nti ssente zigenda kuyambako abalimi okutegeera ebirungi ebiri mu kufukirira ebirime mu ggwanga.