Ssemaka avudde mu mbeera bw’asangirizza mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusiguze.
Kigambibwa omusajja yabadde ava ku mulimu kyokka omukyala yabadde tamusuubira kumusanga kuba yayanguye okudda awaka.
Omusajja bwe yatuuse mu nnyumba, yasaanze omusipi gw’omusajja mu ddiiro era yafunye okwekengera.
Agamba nti yatambudde mpola nnyo okutuuka mu kisenge kyabwe kyokka amaaso gaatuukidde ku musajja ng’ali mukwano ne mukyala we.
Ssemaka n’omusiguze beegudde mu malaka kyokka omukyala yatabukidde bba, okutabangula eddembe lyabwe ssaako n’okubalemesa okutuuka ku ntikko.
Mungeri y’emu omukyala yasabye bba okwebaza omusiguze kuba akoze bulungi nnyo okumutangira obwenzi ate musajja mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge.
Ssemaka omu ku basuubuzi abagundivu mu ggwanga erya Malawi yaddusiddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okuba emiranga n’okuzirika olwa mukyala gw’abadde asinga okwesiga okumukwatira mu bwenzi.