Munnamawulire wa NBS MC Kats alaze nti musajja tagwayo mu nsonga z’omukwano wadde mulwadde mu kiseera kino.

Olunnaku olw’eggulo, waliwo vidiyo eyabadde ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book nga Mc Kats ali n’omuwala ategerekeseeko erya Faith ng’alaga nti mukoowu nnyo.

Mu vidiyo, Faith yabadde alaga nti afaayo nnyo ku MC Kats kuba yabadde amubuuza oba ali mu mbeera nungi kyokka ekyasinze okwewunyisa abantu, Faith kwekulaga abantu Kondomu ezikozeseddwa.

Amangu ddala, abantu batandikiddewo okugamba nti MC Kats yabadde yakava mu laavu ne Faith nga yenna mukoowu era y’emu ku nsonga lwaki mu vidiyo yabadde tali mu ssaati ate nga yabadde akolola nnyo.

Enkya ya leero, waliwo obubaka okuva ku mukutu ogwa WhatsApp obuli mu kusasaana ku mikutu gya yintaneti obulaga nti MC Kats munyivu nnyo olwa Faith okufulumya vidiyo eri eggwanga lyonna.

Mc Kats agamba nti tanaba kwegattako na Faith, ebiri mu vidiyo byonna bipange kyokka Faith alaga nti MC Kats yakoze buli kimu ng’atamidde.

Kigambibwa n’omuwala Faith naye munyivu nnyo olwa MC Kats okulemwa okumalako eddakika mu kaboozi kuba engeri gy’ali omulwadde ng’alina akawuka akaleeta mukenenya, ayongedde okunafuwa.

Vidiyo