Poliisi evuddeyo ku nsonga za mukwano gwa MC Kats, amanyikiddwa nga Faith okulaga vidiyo ng’ali mu nnyumba kyokka oluvanyuma yewunyisizza abantu okulaga nti waliwo Kondomu enkozese, ekiraga nti yabadde ava mu kaboozi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, essaawa eno Poliisi tennalaba kibi kiri mu katambi kubanga tekalaga bya kaboozi nti basinda mukwano, temuli bigambo biwemula okugyako okulaga kondomu enkozese.
Onyango agamba nti bagenda kwebuuza ku kakiiko akalwanyisa obuseegu mu ggwanga aka Anti pornographic committee bwe kanaalaga nti Faith yazizza omusango okusinziira ku katambi, omuwala oyo bagenda kumukwata bamutwale mu kkooti.
Waliwo ebyogerwa nti Faith akatambi yakakwatira mu kisenge kya Kats wabula Poliisi egamba nti tennafuna nsonga yonna lwaki omuwala akwatibwa.
Mungeri y’emu waliwo ebyogerwa nti MC Kats yalemeddwa okutuusa Faith ku ntikko nga bali mu kaboozi kuba mulwadde, omuwala nanyiiga era y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okulaga ensi nti Kats talina ‘Work’.