Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyakatwanga mu ggombolola y’e Nyamarwa mu disitulikiti y’e Kibaale, omwana bw’atemeddwaako omutwe.

Ekiwuduwudu kya Michael Murungi ali mu gy’obukulu 11 kirabiddwa abatuuze nga kisuuliddwa mu mwala gwe Nyabigango.

Abatuuze bagamba nti omwana yagiddwa waka, abatemu abatamanyiddwa era basabye Poliisi okunoonya abaamusse.

Ate ssentebe wa LC 3 mu ggombolola y’e Nyamarwa, Vincent Geddi asabye Poliisi okwongera amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda.

Julius Hakiza omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine agambye nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza era abazadde bagiddwako sitetimenti ku nfa y’omwana waabwe.